ABAGYASI BA UPDF 4 BAFIRIDDE MU KABENJE


October 07, 2019 - 55 views

 

Abagyasi begye lya UPDf 4 ab’omuBrigade ye Kabong bafiridde mu kabenje ke motoka enkya y’olunaku olwaleero. 

Abagyasi bano abatanategeerekeka mannya, babadde batumiddwa okukwata  munaabwe Jimmy Masaaba ku kyalo Uzake mu district ye Kabong , eyakuba omukozi wa kkampuni yabaChina Joseph Nyerere ekyasi ekyamuttirawo oluvanyuma lwokufunamu obutakkaanya. 

Abagyasi bano ababadde mu motoka nnamba DO3DF108, baabuzaabuziddwa embuzi ezibadde zisala oluguudo ekiviriddeko emotoka eno okuwaba neetomera dipo y’omwenge okukkakana nga 4 balusuddemu akaba songa basatu batwaliddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.

Comments(0)

Log in to comment