ABAKULEMBEZE B’AMAWANGA GA AFRICA BAKUNGUBAGIDDE ARAP MOI.


February 11, 2020 - 71 views

Abakulembeze b’amawanga agawerako baakedde mu ggwanga erya Kenya okwetaba mu kusabira omubiri gw’omugenzi Retired Daniel Arap Moi okugenda mu maaso wali ku kisaawe kye Nyayo mu kibuga Nairobi ekya Kenya. 

Omubiri gw’omugenzi Moi gwasoose kutwalibwa mu maka ga pulezidenti w’eggwanga lino Uhuru Kenyatta, n’oluvanyuma n’egwolekezebwa ku kisaawe kya Nyayo National Stadium awategekeddwa omukolo gw’enggwanga lyonna ogw’okumusabira awamu n’okumujjukira. 

Mu bamu ku bakulembeze b’amawanga ag’enjawulo abetabye mu kusaba kuno mulimu owa Uganda Yoweri Kaguta Museveni, owa South Sudan Salvar Kiir, owa Rwanda Paul Kagame, owa DRCongo Felix Shisekedi, owa Tanzania John Magufuli, abakungu okuva mu mawanga ag’enjawulo omuli akiikiridde n’abakyala wabungereza, abaliiko abakulembeze b’eggwanga lya Tanzania abawerako, bannadiini nga kwotadde ne bannansi b’eggwanga lino abeeyiye mu bunji ku kisaawe kino okusobola okwetaba ku mukolo guno.

Okusaba kuno kukulembeddwamu bannadiini ab’enjawulo, era nga omu ku batabani be Phillip Moi amwogeddeko nga omusajja abadde ayagala enyo katonda awamu n’ensi ye.

Retired Daniel Arap Moi eyaliko omukulembeze w’eggwanga lya Kenya ow’okubiri yafa ku balaza ya sabiiti ewedde ku myaka 95, bweyali nga ajanjabibwa mu ddwaliro ekkulu e Nairobi era nga waakuziikibwa olunaku olw’enkya okumpi ne mukyala we.

Comments(0)

Log in to comment