ABANTU 60 BASIMATUSE AKABENJE KA BBAASI EKUTTE OMULIRO


February 11, 2020 - 382 views

Abasaabaze abasoba mu 60 basimattuse okufiira mu kabenje ka bbaasi ye Rwanda, bw’ekutte omuliro n’eyaka n'esaanawo n'ebintu byabwe byona n’ebijiiramu. 

Bbaasi ya Kampuni ya Trinity eye Rwanda namba RAD 644G okukwata omuliro, ebadde eyimiridde webazikeberera (Check point ) e Buwama ku lwe Masaka, kyoka dereeva olubadde okugivaamu ekikka n’ekibuutikira abasaabaze, olwo abasaabaze nebabuna emiwabo. 

Abasaabaze babadde bakafuluma ebweru bbaasi ebwatuse omulundi gumu, nekoleera omuliro neyaka nesaanawo yonna, era tewali kintu kya musabaze kitasiddwa.

Comments(0)

Log in to comment