ABATUUZE BE KALUNGU BASULA KU TEBUUKYE OLW’ABANTU ABABASUULIRA EBIBALUWA


December 10, 2019 - 238 views

Obunkenke bweyongedde mu batuuze be Kyajiija mu district ye Kalungu, oluvanyuma lw’abantu abatanategeerekeka okubasuulira ebibaluwa mu kiro ebibatiisatiisa nga bwebagenda okutibwa. 

Abatuuze bagamba nti mu bibaluwa bino, batiisibwatiisibwa nga bwebagenda okuttibwa  nga babalanga gwa kutta mutuuze  munaabwe Musa Ggaliwango , eyakubibwa okutuusa lweyafa nga bamulanga gwabubbi.

Abatuuze bagamba nti abattemu bano bakatiisatiisa abaana batano ssako nabakulu 10, era nga ebibaluwa bino biwandikidwa mu lulimi oluganda.

 

Comments(0)

Log in to comment