EBITONGOLE BYOBWANAKYEWA BYAGALA GAVUMENTI EWE EMIKUTU GY'AMAWULIRE SSENTE


June 23, 2020 - 115 views

Ebitongole byobwanakyewa bisabye gavumenti eveeyo ewe emikutu gy’amawulire ssente, ezigenda okuyambako mu kwetegekera akalulu ka bona ak’omwaka ogujja. 

Gyebuvuddeko akakiiko kebyokulonda kayanjula enteekateeka y’okulonda kuno, mwekategeereza nga okunoonya obululu bwekugenda okukolebwa mu mikutu gya tiivi, radio ne social media, kati ebitongole okuli ekirwanirira eddembe lyabanamawulire ekya Human Rights Network for Journalists n’ekya Africa freedom of Information Center bigamba nti bannamawulire bakwesigamwako nyo mu nteekateeka eno, nga y’ensonga lwaki gavt erina okuvaayo erungamye emikutu gino, ku ngeri gyebagenda okukola emirimu gyabwe awatali abakuba ku mukono.

 

Omukwanaganya w’ekibiina ekirwanirira eddembe lyabannamawulire ekya Uganda Human Rights Network for Journalists Robert Ssempala agamba nti wateekeddwa okubaawo amateeka agagenda okulunngamya enteekateeka eno..

Comments(0)

Log in to comment