OKUWULIRA OMUSANGO OGUVUNAANIBWA BOBI WINE NE BANNE KWONGEZEDDWAYO


December 12, 2019 - 252 views

Okuwulira omusango guno, Bobi Wine gwavunaanibwa ne muganda we Fred Nyanzi ssentamu, Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddy mutwe, Julius Katongole ne David Lule kwongezeddwayo okutuusa nga ennaku z’omwezi 24 mu February w’omwaka ogujja.

Bobi wine ne banne kigambibwa nti baakuba olukunngana mu ngeri emenya amateeka, bwebaali nga balaga obutali bumativu bwabwe olw’omusolo gwa Ott ogwateekebwa ku mikutu emiyunga bantu

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda road okwongezaayo omusango guno kiddiridde abawawabirwa obutalabikako mu kkooti eno enkya ya leero.

Munamateeka wa wabawaabirwa agamba nti kkooti eno yaweereddwa ekiwandiiko ekiraga nga omubaka Bobi wine bwatagenda kusobola kulabikako mu kkooti, wadde nga bbo abawawaabirwa abalala babadde bakyali mu kubbo nga bajja.

Ye ssekamwa w’ekisinde kya people power Joel ssenyonyi ategeezeza nti omusango guno newegwongezebwayo emirundi egiwera, sibakugaana kukomawo mu kkooti.

Comments(0)

Log in to comment