OMUGAGGA MEDARD KICONCO YAASINZE MU MUSANGO GW’ETTAKA LY’E LUSANJA


October 04, 2019 - 334 views

Ekkooti enkulu mu Kampala evuddeyo neewa ensala yaayo mu musango gwe nkaayana z'ettaka wakati w'abatuuze b'elusanja n'omugagga Medard Kiconco.

Omulamuzi Taddeo Asiimwe bwabadde awa ensala ye agambye nti Kiconco ettaka yaligula mu butuufu okuva ku Paul Katabaazi Bitabareho.
Omulamuzi agambye nti abatuuze b'omu Lusanja 147 bebamenyera ennyumba ettaka lyabwe baaligula mu Lusanja mu Disitulikiti ye Wakiso obuyinza nebabufuna ku muntu omukyaamu Crispa Bitarabeho.
Omulamuzi agambye nti abatuuze bano bawubisibwa Ssentebe w'ekyalo Kibuuka eyateeka omukono ku ndagaano y'ettaka eriri mu Kampala so nga obuyinza bwe buli mu Disitulikiti y'e Wakiso.


Kkooti egamba nti esinzidde ku kunoonyereza kweyakola bweyakyala mu kifo kino e Ssekanyonyi. Omulamuzi agambye nti wadde nga abantu 147 ettaka baligula Ssekanyonyi Mpererwe, endagaano zaabwe teziba ntuufu kuba ettaka lino tebaligula kuva ku muntu omutuufu eyalina obuyinza nga bano baligula ku Crispa Bitabareho so nga omuntu eyalina obuyinza ku ttaka lino ye Paul Bitarabeho.
Kkooti erangiridde nti abantu 147 ettaka baliriko mu bukyaamu kuba lya Kiconco era anakwatibwa ajja kuvunaanibwa okusaalimbira mu ttaka eritali lyabwe kuba etteeka ligamba nti omuntu yenna atamanyi ani nannyini ttaka, buba bujulizi nti asaalimbira ku ttaka eritali lirye. Ensala y'omulamuzi ebasomeddwa Deputy Registrar Sylvia Nabkooza.


Omulamuzi abawadde enaku 30 nga bavudde ku ttaka lya Kiconco, Kiconco alagiddwa okuliyirira abantu 4 bokka beyasangako ku ttaka.
Ettaka lino liweza acre 3.89 nga kitundu ku acre 85 nga yaligula ku mugenzi Paul Katabazi Bitarabeho eyaligula mu 1978 okuva ku Namasole Bagalaayeze Lunkuse, eyazaala Ssekabaka Mwanga.
Kiconco agamba nti ettaka lino yaligula mu 2013 era nga kwaliko abantu 17 bagamba nti yabasasula. Bano kwaliko; Patrick Opedo, Harriet Nabuso, Samuel Muyanja, Agnes Namukasa, Madinah Nansereko, Christopher Mbogo, Christine Kayesu, John Ntale, Fred Kanyike, Sam Serunjobi, Mary Nankabirwa, John Kilabira, Kenneth Kizito, Bashir Kalema, Martin Ntale, Kabuye Ssekitoleko ne Scovia Nyanzi

Comments(0)

Log in to comment