POLIISI EKUBYE TIYA GAASI SSAAKO N’AMASASI MU BANAKISINDE KYA PEOPLE POWER


December 12, 2019 - 293 views

Poliisi ekubye tiyagaasi ssaako n’omukaga ogubalagala mu banakisinde kya people power, ababadde bawerekera omwogezi w’ekisinde kino Joel ssenyonyi okuva ku kkooti, ya Buganda road, gyakedde okuwulira omusango oguvunaanibwa omubaka wa kyadondo eyobuvanjua Robert Kyagulanyi ssentamu anmanyidwa enyo nga Bobi wine ne banne , kubigambibwa nti baakuba olukunngana mu ngeri emenya amateeka,bwebaali nga balaga obutali bumativu bwabwe olw’omusolo gwa Ott ogwateekebwa ku mikutu emiyunga bantu.

 Embeera ebadde ya dduka dduka, bannakisinde kino bwebayambye Ssenyonyi okudduka ku poliisi, era mu kwogerako naye, akakasiza nga bwatagenda kuzikiza okutuusa nga ekigendererwa kyabwe kigguse.

Comments(0)

Log in to comment